OBUTAMBI ng’omuyimbi Douglas Mayanja amanyiddwa nga Weasel yeecanga nga kw’atadde okuleekaanira waggulu bwakedde kusaasaanira mutimbagano.
Weasel mu kiseera kino ali mu America gye yatwalibwa ne mukulu we Jose Chameleone okumujjanjaba.

Juliet Zawedde Lwe Yakyalira Chamilli Mu Ddwaaliro.
Weasel ne Chameleone baatwalibwa Juliet Zawedde mu mwezi gwa December era okuva olwo y’abadde abalabirira nga Chameleone bw’afuna obujjanjabi.
Kigambibwa nti oluvannyuma lw’akatambi okusaasaana, ffamire ya Mayanja yatuuzizza olukiiko nga baagala Weasel akomewo olwo Pallaso agende ajjanjabe Chameleone.
Wabula Pallaso agamba nti alinayo ebivvulu 5 nga yatandise dda n’okubyetegekera era nti okubisazaamu si kyangu.