Fille akomyewo okuva e Rwanda

Ababadde beebuuza omuyimbi Fille Mutoni gye yabulira, kati mutegedde nti abadde Rwanda gye yagenda okuwummulako.

Fille akomyewo okuva e Rwanda
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Muyimbi #Fille #Kasalabecca

Ababadde beebuuza omuyimbi Fille Mutoni gye yabulira, kati mutegedde nti abadde Rwanda gye yagenda okuwummulako.

Emabegako, ono teyali mu mbeera nnungi olw’embeera eyava ku kukozesa ebiragalalagala era yatwalibwako ne mu ‘lihaabu’ okumuzza engulu. Ndowooza bwe yadda engulu, kwe kusalawo okugendako ewaabwe e Rwanda. 

Wiiki eno yalabiseeko ku kitebe ky’abayimbi e Mutundwe era abayimbi nga bakulembeddwa Eddy Kenzo ne bamukolera akabaga akamukulisaayo.