ISAAC Katende amanyiddwa nga Kasuku, avudde mu lubu lw’obutabeera na mulimu gwa nkalakkalira n’alya n’ebigambo bye era waakuddamu okukola ku ttivvi.
Ono yakoze endagaano ya myaka ebiri ne ttivvi emu esangibwa mu bitundu by’e Ntinda era yasasuddwaako emyezi mukaaga wadde ng’okukola, atandika mwezi gujja.
Okuva lwe yava ku Spark nga pulogulaamu y’oku makya gye baali bakola eggyiddwaawo ate ne Ddembe FM n’eggalwa, yali yalayira obutaddamu kukozesebwa.
Wabula yeekyusizza ng’agamba nti ddiiru eno ey’obukadde bw’ensimbi eyamuweereddwa ebadde terekeka era yaakukyusa obulamu bwe.