Patience Ozokwor ow'e Binigeria anyumidde ggomesi ne bamutuuma erya 'Nabbowa'

KAFULU w’okuzannya Ebinigeria, Patience Ozokwor, awoomedde mu gomesi n’aweebwa n’erinnya lya Nabbowa. 

Patience Ozokwor ow'e Binigeria anyumidde ggomesi ne bamutuuma erya 'Nabbowa'
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Patience Ozokwor #Kasalabecca #Kuzannya ffirimu #Nabbowa #Binigeria #Ggomesi #Kunyuma

KAFULU w’okuzannya Ebinigeria, Patience Ozokwor, awoomedde mu gomesi n’aweebwa n’erinnya lya Nabbowa. 

Baabadde ku mukolo gw’okugabira abazannyi ba ffirimu abasinze mu Uganda ku Lwomukaaga era gwetabiddwaako ebikonge ne bakafulu mu kuzannya ffirimu n’abayimbi abatali bamu. 

Eddy Kenzo, yaweereddwa omukisa ogw’okutuuma Kanayo O erinnya nga naye muzannyi wa Binigeria era n’amuwa erya Kizito, okulaga obuzito bwe mu kisaawe ky’okuzannya ffirimu era n’ategeeza nga bwe yakula anyumirwa
ffirimu ezizannyibwa abantu bano.