LYDIA Jazmine, akooneddemu Sheebah Kalungi nti akola kinene nnyo, okukola ekisaawe kya myuziki wa Uganda nti era w’ataba, eddibu lirabikira dda.
Sheebah, nnakawere era okuva omwaka oguwedde lwe yakola ekivvulu kya ‘Nneeyanzizza’ ng’ali lubuto n’asiibula abawagizi be nga bw’agenda mu luwummula, abadde taddanga ku siteegi.