Kasalabecca

Zanie Brown afulumizza vidiyo y'oluyimba lwa 'Si Yiyo' n'acamula abawagizi be

Omuyimbi Zanie Brown ( Zanie Namugenyi) afulumizza omuggo gwa vidiyo ya 'Eno Ensi Si Yiyo' n'acamula abawagizi be!

Zanie Brown afulumizza vidiyo y'oluyimba lwa 'Si Yiyo' n'acamula abawagizi be
By: Frank Lukwago, Journalists @New Vision

Omuyimbi Zanie Brown ( Zanie Namugenyi) afulumizza omuggo gwa vidiyo ya 'Eno Ensi Si Yiyo' n'acamula abawagizi be!

Zanie era nga C.E.O wa Zanie Brown 4 Schools abadde amaze akabanga ng'abantu beebuuza kiki ky'afumba vidiyo y'oluyimba lwa 'Si Yiyo' yagitadde ku Lwakubiri nga April 1, 2025 n'akkakkanya ababadde bamubuuza akabuliriro.

Vidiyo y'oluyimba nnungi okuzaama kyokka ekisinga okugifuula ey'enjawulo bwe bubaka bw'oluyimba!

Si Yiyo lukwata bantu abeegulumizza okusukkuluma ku balala, n'abo abakozesa amaanyi agasukkiridde eri abalala omuli okutta, okutulugunya n'ebikolwa eby'ekko kyokka nga n'ekyewuunyisa, be bakulembeze okufuuka kyesirikidde!!

Ab'emimwa egitasirika baatandise dda okutema 'omugambo' nti luno oluyimba lwa 'nkyukakyuka', so nga lukwata ku mbeera ya bulijjo n'ebyo abantu bye bayitamu mu bifo ebyenjawulo gye bawangaalira.

Ku nkomerero ya vidiyo,  Zanie annyonnyola amakulu g'oluyimba nti eno ensi teriiko nnyiniyo okuggyako Mukama Katonda mw'agambira nti abakulembeze, abagagga, baseerebu n'abo abalina obuyinza n'amanyi nga n'ensi ebatya tebalina kwerabira nti ku lunaku luli olw'enkomerero, buli ssekinnoomu ajja kuyimirira mu maaso ga nnannyini nsi Mukama Katonda awe embalirira olw'ebikolwa bye wansi w'enjuba

'Nnalulungi' Zanie n'afundikira nti: "Eno ensi ssi yiyo, nange ssi yange ate na bali ssi yaabwe".

Obubaka buno bukubiriza buli muntu okweyisa obulungi eri munne, okutambulira mu kwagala kwa Katonda kubanga Katonda kwagala era atulagira okwagalana so ssi kukyawagana.

Tags:
Zanie Brown
Si Yiyo
Kasalabecca
Zanie