Sheila Gashumba agenze mu kutabula muziki!

Apr 21, 2025

SHEILAH Gashumba yeesozze ensiike y’okutabula emiziki.

NewVision Reporter
@NewVision

SHEILAH Gashumba yeesozze ensiike y’okutabula emiziki. Omuwala ono azze akola emirimu egy’enjawulo okuli okuweereza ku ttivvi, okukola obwa kalabaalaba mu bbaala, okutegeka obubaga n’ebirala.

Agaliwo kati, asazeewo okwegatta ku ba ‘deejay’ abakazi mu Uganda nga Lynda Ddane, Zahara Toto n’abalala.

Ng’ayita ku mitimbagano gye, yakakasizza okwesogga obwa DJ n’ategeeza nti afunye okutendekebwa okuva mu bamu ku ba DJ abasinga okuba ab’akabi mu Africa naddala ab’e South Africa abakuba ennyo Amapiano.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});