Bro Ronnie alangidde bannabyabufuzi abeeraguza mu biseera by'okunoonya akalulu
Apr 23, 2025
BRO. Ronnie Makabai, akulira Ekkanisa ya ETM ku Salaama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga ku lw’e Ntebe, alangidde Bannabyabufuzi abagendanga mu masabo okweraguza mu biseera by’okunoonya akalulu.

NewVision Reporter
@NewVision
BRO. Ronnie Makabai, akulira Ekkanisa ya ETM ku Salaama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga ku lw’e Ntebe, alangidde Bannabyabufuzi abagendanga mu masabo okweraguza mu biseera by’okunoonya akalulu.
Makabai eyasinzidde mu kusaba kw’Amazuukira mu Kkanisa ye e Bwerenga n’alangira Bannabyabufuzi nti, abamu bannakigwanyizi abatalumirwa balonzi era abeenoonyeza ebyabwe okwekkusa bokka ne ffamire zaabwe.
Yagambye nti, kikwasa ennaku nti, abalonzi bangi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo bali mu bwavu nga n’amakubo agamu tegakyayitikamu. Kyokka nga Bannabyabufuzi be balonda balya bicepere ne ffamire zaabwe ekintu kye yagambye nti, kimazeemu bangi amaanyi okwetaba mu kulonda.
Era Makabai yagambye nti, Bannabyabufuzi abamu bannanfuusi ng’emisana babeera mu Kkanisa n’emizikiti, kyokka bwe butuuka ekiro obasanga baddukidde mu basamize nayo babataase.
“Abantu bano bakwata ebitabo ebitukuvu ne balayira kyokka nga bakimanyidde ddala nti, mu biseera by’akalulu basula mu masabo,” Makabai bwe yagambye.
Yayogedde ne ku butabanguko obususse mu maka n’agamba nti, kivudde ku butasembeza Katonda olwo sitaani n’awaguza era ne yeegazaanya bulungi kuba tewaba amukuba ku mukono.
“Nsaba abo bonna abaagala emirembe mu maka gaabwe basembeze nnyo Katonda olwo omulabe sitaani bajja kuba bamufuumudde,” Makabai bwe yakikkaatirizza. Yawabudde abo Mukama b’alinnyisizza eddaala mu ffamire zaabwe okuyamba abalala abali obubi nabo basobole okufuna kye bakola n’agamba nti, kino bw’okikola ofunamu empeera.
No Comment