Diamonda Platinumz yeesunga kukola collabo ne Chamilli
May 27, 2025
Bwe yabadde e Ntungamo mu kivvulu ekimu ng’ayimba, Diamond Platinumz yasiriikirizzaamu mu ndongo ne yeebaza Katonda eyassuusa Chameleone obulwadde oluvannyuma lw’ebbanga ng’alumizibwa.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
Diamond yeesunga kolabo ne Chamilli
OMUYIMBI Diamond Platinumz ow’e Tanzania yeesunga kukolako kolabo ne Dokita Jose Chameleone.
Bwe yabadde e Ntungamo mu kivvulu ekimu ng’ayimba, Diamond Platinumz yasiriikirizzaamu mu ndongo ne yeebaza Katonda eyassuusa Chameleone obulwadde oluvannyuma lw’ebbanga ng’alumizibwa.
Yeebazizza Chamilli olw’ebyo by’akoledde myuziki mu nsi za East Afirika era n’ategeeza nti ayagala kukolayo oluyimba naye.
Yagambye nti yayagala dda balukole omwaka oguwedde kyokka ate bwe budde, Chamilli mwe yalwalira n’atwalibwa mu Amerika okujjanjabwa.
Agamba nti olw’okuba yakomawo ng’ateredde, akakasa nti y’essaawa bakole oluyimba bombi nga bassita ba East Afrika mu kuyimba.
No Comment