EEby'okuggala ofiisi z'ekibiina ekitwala abayimbi mu ggwanga babiroopye wa minisita

May 27, 2025

EBY’OKUGGALA ofiisi z’ekibiina ekitwala abayimbi mu ggwanga ekya Uganda Musicians Association (UMA), bitwaliddwa wa minisita.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

EBY’OKUGGALA ofiisi z’ekibiina ekitwala abayimbi mu ggwanga ekya Uganda Musicians Association (UMA), bitwaliddwa wa minisita.

Ofiisi zino ezisangibwa ku National Theatre mu Kampala, zaggalwa ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde ku bigambibwa nti baali babanjibwa ssente z’obupangisa ezikunukkiriza mu bukadde 40.

Jeff Ekongot, omu ku baddayirekita mu kibiina kya UMA agamba nti baamaze dda okuwandiikira minisita w’ekikula ky’abantu n’abakozi nga beemulugunya ku bantu abagezaako okubalwanyisa.

 Agamba nti newankubadde nga ofiisi zino zaggalwawo essaawa ntono, baagala okumanya ensonga eyazireetera okuggalwa kuba bo ng’ekibiina ekiri wansi wa UNCC tebalina kusasula ssente za bupangisa era tebazisasulangako kuba baaweebwa buweebwa ofiisi ezo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});