VERONICA Luggya amanyiddwa nga Vinka bwe yayimba akayimba ka ‘Omukwano gwo’ yali akitegeeza.
Okumanya Vinka mukazi mmekete, okugenda e Bungereza ne bba, kigambibwa nti bakama be ku Swangz Avenue teyabagambye era nabo beekanze bifaananyi ku mutimbagano ng’ali ne bba ku kisaawe.
Abamuli okumpi bagamba nti kino Vinka kye yakoze, kyongera kukendeeza ku ky’obuwangaazi bwe mu Swangz Avenue anti waliwo agatambula nti essaawa yonna agyabulira.