DAX Vibes muto wa Bobi Wine (Pulinsipo Robert Kyagulanyi Ssentamu) era y’omu ku bayimbi abalinawo ennyimba ezitambula kati.
Tebateng'ana ne Jeff Kiwa eyali maneja wa Sheebah. Era Jeff lwe yasisinkana Bobi Wine e Busaabala gye buvuddeko kigambibwa nti Dax Vibes ye yamumutuusaako.
Era gye buvuddeko, Jeff yalabiddwaako ng’atambulira mu mmotoka ya Dax Vibes ekika kya Noah. Kyonna kye baliko kikulu.