BEBE Cool muyite Big Size, ennaku zino ali bulala.
Oluvannyuma lw’okufulumya olutambi lw’ennyimba olwa ‘Break The Chains’ oluliko ennyimba eziwera, kati abisuddemu engatto, atalaage Bulaaya gy’agenda okukwatira vidiyo empya ez’ebbeeyi.
Asookedde South Africa wiikendi eno, gy’agenda okuva yeesogge ensi endala mu Bulaaya okuli ne Bungereza, akwate vidiyo z’ennyimba ze.