BEBE COOL atabukidde aboogerera olutambi lw’ennyimba lwe yafulumizza olwa Break the Chains.
Okuva olutambi lw’ennyimba luno bwe lwafuluma abantu ab’enjawulo bazze baluwaako endowooza zaabwe ng’abamu bagamba nti omuyimbi naye tamanyi baani be yayimbidde ate abalala nti tannakola kimala kulutunda mu bantu ate abandi nti ssi lwa Bannayuganda kuwuliriza.
Bebe mu kumwanukula yeewuunyizza nnyo omuntu gwe yayogerako naye nga tannafulumya lutambi luno ate okuvaayo okukola yintaaviyu ng’amwogerera mu kifo ky’okumukubira essimu n’abimugamba.