WINFRED Nakanwagi amanyiddwa nga Winnie Nwagi, ye n’okukuba abawagizi empi ne tteke baafuuka balongo. Bwe yabadde e Ntungamo ku ekivvulu ekimu, yakubye omuwagizi empi ne tteke.
Abasinga nga tebannamunenya, basoose kwebuuza obukugu bwe yakozesezza n’ekika kya ffirimu ky’alaba ennaku zino ekimuwa obukugu mu kukasuka ensambaggere.
Nwagi azze akuba abawagizi abasiiwuuka empisa nga bamukwata obutambi era akyenyumirizaamu nti si waakuzikiza okutuusa nga bakikomezza.