SPICE DIANA adduukiridde omuyimbi Sarah Short. Ku Lwomukaaga lwe yamukyalidde mu maka e Sentema Bujuuko, okumusaasira obulwadde n’okumuwa ku by’okukozesa.
Era yamuzzizzaamu amaanyi nti bayimbi banne bamulowoozaako mu mbeera y’okusoomoozebwa gy’ayitamu nti era ye (Spice) y’abagguliddewo ekkubo, ng’abalala bakyajja.
Yamutwalidde ebintu by’okukozesa omuli; ssabbuuni, ebyokulya n’ebirala era n’amuwa ne ku ssente enkalu zimuyambeko okugula eddagala.
Sarah yamubuulidde engeri gy’azze alumwa amagulu oluusi ng’alemwa n’okusituka wansi wadde nga kati awulira bulungiko nga yazzeemu n’okutambulamu wadde nga baba bamuwaniridde.