OMUYIMBI Irene Ntale ayayogedde ku by’okuzaala omwaka ogujja.
Omwaka guno, yakyaza omwami we Vincent Kalibbala mu maka ga bakadde be era ne basuubiza okukola emikolongyonna mu bbanga eritali lya wala.
Ntale ne Kalibbala ennaku zino balabwako bombi mu Klezia mu kusaba era abamu bagamba nti bandiba nga beetegekera mbaga.