EDDY KENZO akalulu ka mukyala we era minisita Phiona Nyamutoro kamuwuuba. Amakanda yagakubye Nebbi, Nyamutoro gy’azaalwa era kati afuuwa Lungereza anti tamanyi lulimi lwayo.
Kenzo, akunga abantu okuwagira mukyala we bamuwe obululu obumuzza mu Palamenti nti y’alina ‘waaka’. Kyokka ate ku ludda lw’abayimbi, abamu baabadde batandise okwemulugunya nti Kenzo, pulezidenti
wa federesoni yabasuulawo.
Bino Kenzo olwabitegedde, n’agenda ku mitimbagano n’abakakasa nga bw’akyali nabo newankubadde abadde na bingi ebimumalawo.