BAD BLACK atabukidde omuvubuka eyeesiba ku mwana we gwe yaakazaala, atannaweza na mwezi. Omuvubuka ono yeeyita Mutima ku mukutu gwa Tik-Tok ng’abeera Qatar.
Agamba nti omwana Bad Black gwe yaakazaala wuwe nti kyokka yamuwadde musajja mulala.
Yeesomye nti waakudda e Uganda, bamukoleko DNA. Wabula Bad Black mukambwe era amulabudde ave ku mwana we gw’ayagala okukolerako ‘kontenti’ w’emitimbagano.
Bad Black yagambye nti omwami we Slim Daddy alindiridde bbebi okumala emyaka 6, ate laba abalala bwe bamwesibako.