“MBALINZE mbakakase kye bayita okuyimbisa omulere n’onyumirwa n’otoyoya bigambo,” Isaiah Katumwa, omufuuyi w’omulere bwe yayogedde ng’akoowoola abanyumirwa myuziki wa Jazz okweyiwa ku Serena ku Ssande eno.
Eno agenda kubaayo n’abafuuyi b’omulere abalala ab’akabi mu Uganda mu kivvulu kye batuumye Isaiah Katumwa 30 years of Jazz.
Katumwa yategeezezza nti abanajja mu kivvulu, baakunyumirwa mu ngeri eteri ya bulijjo.
Ng’oggyeeko abo abafuuwa omulere, ekivvulu kyakubaako n’abasuna gitta nga Tshaka Mayanja, Myko Ouma, Charmant Mushaga n’abalala so ng’ate n’abanyumirwa myuziki ow’okwatula ebigambo, abayimbi nga Naava Grey baakubaayo okubasanyusa.