ISAIAH Katumwa, ku wiikendi eyaakayita ku ssande yacamudde ebikonge ku Serena n’abaleka nga bamunyeenyeza mutwe nga embuzi etenda enkuba.

Abacakaze nga banyumirwa endongo ya Jazz eya Isaiah Katumwa.
Omulere gwa Katumwa gwasitudde ebikonge mu gavumenti, ababede, abanene n'abawanvu bonna era bakira afuuwa omulere ng'eno bwe basituka mu butebe ne banyeenya ku galiba enjole.

Aba Afrigo Band ekulira Moses Matovu (ku ddyo) nabo baabaddeyo

Sipiika Tayebwa ne mukyala we (wakati) ssaako ebikonge ebirala nga banyumirwa
Akulira Vision Group, Don Wanyama ye yayanirizza abazze ku kivvulu kino ekyatandise ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi. Isaiah Katumwa, yabadde n’abafuuyi b’omulere abalala omwabadde; Mark Lang, Robert Aduba, Charmat Mushaga omusunyi wa ‘ggita’ n’abalala ate omuyimbi Naava Grey, Racheal Namubiru n’abalala be baayimbye naye ku siteegi.

Maama Miria Matembe Ng'anyumirwa Endongo Ya Katumwa.

Amyuka Akulira Vision Group, Gervase Ndyanabo (akuba Engalo) Ne Michael Mukasa Ssebowa Akulira Bukedde, Mu Kivvulu.

Okuva Ku Kkono; King Scissor, Mnisita Nabakooba, Sipiika Tayebwa Ne Mukyala We, Katumwa, Jimmy Mugerwa N'abalala.

Siteegi nga bwe yalabise nga yonna emyansa.

Kino kyabadde kivvulu kya mirere ddala!

Essanyu nga libula okutta abanyumirwa Jazz ku Serena.

Michael Ouma omukubi w'endingidi nnakinku naye yabaddeyo ng'alaga obumanyi bwe