Embaga ya Desire Luzinda e Levixone yakubaawo nga 15.8.2025

Desire Luzinda ne Sam Lucas Lubyogo amanyiddwa nga Levixone kyaddaaki bavuddeyo ne balangirira embaga yaabwe mu lwatu.

Desire ne Levixone
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Desire Luzinda ne Sam Lucas Lubyogo amanyiddwa nga Levixone kyaddaaki bavuddeyo ne balangirira embaga yaabwe mu lwatu.

Ababiri bano bamaze ekiseera nga baagalana mu ngeri ey'enkukutu wabula nga 27.7.2025 baavuddeyo ne balangirira mu lwatu mu Church ya Apostle Grace Lubega eya Phanero ne bategeeza nti embaga yaabwe yakubaawo nga 15  omwezi gwa August.