Aaronx yeetonze ku bye yayogedde ku Bebecool ng'amunafuya

Omuyimbi Aaronx kimulidde. Ono gye buvuddeko, yakoze yintaaviyu n’azalawa Bebe Cool nti by’ayimba ennaku zino temuli. 

Aaronx yeetonze ku bye yayogedde ku Bebecool ng'amunafuya
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Aaronx #muyimbi #Bebecool

Omuyimbi Aaronx kimulidde. Ono gye buvuddeko, yakoze yintaaviyu n’azalawa Bebe Cool nti by’ayimba ennaku zino temuli. 

Yayongeddeko nti ssinga abadde kumpi ne Bebe yandimuwabudde okutandika okutendeka abayimbi bato ng’abassaamu ne ku ssente kuba omulembe guno mu bya myuziki gwamulema nga n’olutambi Bebe lwe yaakafulumya, terunnakola bulungi.

Ono abawagizi ba Gagamel ne Bebe Cool baamutwalidde bubi ng’enjogera y’ennaku zino bweri gye byaggweeredde nga yeetonze.