Nkuze naye temumbuuza bya musajja - Jowy Landa

Okufa kwa muto wange kwannyiga nnyo era nali sisobola kuguma

Nkuze naye temumbuuza bya musajja - Jowy Landa
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Jowy Landa #Kasalabecca #Muyimbi #Kuyimba

Nga kitalo ekya muganda wo Kawuki...

Kitalo nnyo, naye nga Katonda bw’atagera kibi, naguma era nneebaza abambeererawo.

Nnali sikulabangako ng’okaaba bw’otyo....

Ndi ‘solid’ naye ku luno kyasukka ekya muganda wange oyo..

Jowy Landa Bw'afaanana.

Jowy Landa Bw'afaanana.

Naye kati wazze engulu era nakulabye okasuka mizayiro ku mutimbagano...

Nze atannatabuka mutwe ng’amayinja nkasuka gaaki?

Ntegeeza okuyomba n’abantu ku mutimbagano...

Abo kati mbaweerawo sikyayagala bya kunzalawa...

Abasinga bagamba weekyaye..

Nakoowa. abantu bazze bannafuya.. kimala

DJ Roja eyali maneja wo yadda wa?

Akola emirimu gye, talina buzibu bwonna.

Wamusuulawo n’odda ewa Jeff Kiwa, kiki?

Kati ndi ku kiddako naye mmweebaza byonna...

Ewa Jeff ndaba kitambula n’ennyambala yakyuka

Ky’ogamba nnali nnyambala bisiimuula?

Si bwe ng'ambye naye kati okuze

Kituufu nkuze naye tombuuza ku ky’omusajja kuba nkumanyi ky’ozzaako...

Omuyimbi Nandor Love wamussa wa? Nga mwali mutijja!

Haha… oyo ccali wange tubaayo mu magezi

Ndaba oli nnyo ne Ava Peace

Ava, tuyimba naye mu kibiina kya Team No Sleep.

Siibula abantu obabuulire n’amannya go..

Mbu tebalaba bifaananyi ne bamanya nti nze Jowy Landa.