EMMANUEL Lwasa, eyaliko omugagga w’omu kibuga, tatudde.
Gye buvuddeko, yali wa Pasita Wilson Bugembe n’ayatula obulokozi wadde ng’eddiini ye eyasooka yali Mukatoliki era yasaba abantu okumusabira, ave ku kutamiira.
Kyokka ennaku zino ayogera birala era agamba nti yeegomba Obusiraamu nga yafuna ne Sheikh, amuyisizaamu mu bintu ebimu ebikwatagana n’eddiini eno ng’essaawa yonna, waakulumba omuzikiti, atoole Shahadah (emuyingiza mu Busiraamu).
Ayongerako nti yeesunga kugenda Mecca nga n’omukyala gw’alina kati Musiraamu.