Kasalabecca

Mwanje ayanise ab'enkwe

OMUYIMBI wa bandi, Umar Mwanje ‘Owekyejjo’ okuva mu kibiina kya Legacy Bandi, afulumizza oluyimba lwe olupya lw’atuumye ‘Omuntu ow’enkwe’. 

Mwanje ayanise ab'enkwe
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

OMUYIMBI wa bandi, Umar Mwanje ‘Owekyejjo’ okuva mu kibiina kya Legacy Bandi, afulumizza oluyimba lwe olupya lw’atuumye ‘Omuntu ow’enkwe’. 

Ku luno, ayimbye ku mitima emibi egy’abantu abamu be tuwangaala nabo n’afaananako Jose Chameleone eyayimba oluyimba lwa ‘Bayuda tuyita nabo’. 

Agamba nti tuwangaala n’abantu be tulowooza nti bannaffe era mikwano gyaffe naye ng’emitima gyabwe mulimu enzikiza, ffitina n’obutaagaliza. 

Mu luyimba lwe luno, Umar Mwanje ayimbye ne ku bannabyafuzi abakyusa ebibiina ng’engoye nga bano tebanoonya kuweereza bantu wabula kulya. 

Ayongerako nti omuntu ow’enkwe, buli kye muteesa abeera abakongoola era waliwo muyimbi munne ow’enkwe nga bateesa ekintu ku Lwokutaano ate ku Ssande, ye n’ayogera kirala.