Kasalabecca

Muzeeyi Mayanja ayingidde mu nsonga za mutabani we Weasel

Muzeeyi Gerald Mayanja ayingidde mu nsonga za mutabani we Weasel ne mukyala we Sandra Teta.

Muzeeyi Mayanja ayingidde mu nsonga za mutabani we Weasel
By: Musa Ssemwanga, Journalist @New Vision

Muzeeyi Gerald Mayanja ayingidde mu nsonga za mutabani we Weasel ne mukyala we Sandra Teta.

Muzeeyi Mayanja bw'afaanana.

Muzeeyi Mayanja bw'afaanana.

Kino kiddiridde akatambi akaasaasanye ku mitimbagano ng’omuyimbi Weasel ng’amannya ge amatuufu ye Douglas Mayanja, ng’alaajanira ewaka nga bwayita abantu omwabadde ne mukulu we Jose Chameleone okugenda bamutaase ku mukazi we gw’agamba nti amufuukidde ekizibu.

 

Mu katambi kano, Teta yalabise ng’alina obusungu era ng’aliko ky’akutte mu ngalo ekyefaananyiriza eccupa okugikuba omuntu.

 

Mu katambi akaasaasanye, Weasel yawulikise ng’alaajana nti Teta yamutomera naye tamujjanjabangako era ng’ebikolwa bye ate biringa ebiraga ayagala kumutta.

 

Weasle ne Sandra Teta

Weasle ne Sandra Teta

Yasabye Teta afulume amaka ge agende ewaabwe mbu kubanga kimuyitiriddeko ng’okulwanagana kususse.

 

Ababiri banno bazze basoowagana era ng’ogukyasembyeyo, Teta yatomera Weasel n’amumenya okugulu so ng’emabegako Weasel yakuba bubi nnyo Teta feesi n’ewulubala.

 

Bukedde bwe yatuukiridde muzeeyi Mayanja yategeezezza nti ensonga z’ababiri bano zimusobedde kuba tebaggwa kuyomba nga naye yeekanga alaba butambi ku mutimbagano nga waliwo ekyabatuuseeko.

 

Yategeezezza nti waakugendayo ayogereko nabo bakomye okulwanagana nti kuba kuyinza okubaviiramu okufiirwa obulamu.

Tags:
Weasel
Sandra Teta
Gerald Mayanja