MARIAM Kasana, 39 omutuuze mu Kisasa zzooni mu munisipaali y’e Makindye y'atawaanyizibwa ekizimba ku mutwe ekyetaaga okulongoosebwa oluvannyuma lw’abasawo e Mulago okumwekebejja ne bamugamba yeetaaga kugenda Buyindi.
Agamba nti, obulwadde buno bwamutandika mu mwaka gwa 2023, era yasooka kuwulira kusiiyibwa wansi w’ensingo ng’atakulawo buli kiseera, wabula obulumi bwamweyongera ekyamuleetera okwelaliikirira.

Ebbaluwa Eziraga Obwetaavu Okujjanjabwa E Buyindi.
Yufuna eddagala mu malwaliro aga bulijjo wabula nga tawulira nkyukakyuka, oluvannyuma embeera yeyongera okubeera embi n’ekitundu ekimu eky’omubiri ne kisannyalala kwe kusalawo okugenda mu ddwaaliro lya Case Hospital ne Mulago okumwekebejja.
Ku Case Hospital gye yasookera baamukebera era ne bamugamba nti alina ekizimba ekiri wansi w’omutwe nga kigatta n’eggumba eritambuza obusimu bw’omubiri ‘Spinal cord.
Bwe yeeyongerayo mu ddwaliro e Mulago abasawo ne bamugamba nti ekizimba kirina kulongoosebwa wabula tasobola kukolebwako wano e Uganda.
Ekizimba engeri gye kigatta ku ggumba eritambuza obusimu n’abasawo e Mulago baamugamba alina okutwalibwa Buyindi mu bwangu mu mwezi gwa November basobole okumulongoosa ng’embeera tennaba kwonoonekera ddala.

Mariam Kasana (ku ddyo) Eyeetaagisa Okulongoosebwa, N'abamu Ku Bakulembeze Mu Kitundu Abamukwatiddeko
Mu kiseera kino, atudde mu kazigo gy;asula e Makindye n’abaana be 5 abatakyasoma olw’ebbula lya ssente n’obujjanjabi obukendedde.
Ono yeetaaga obuyambi bwa ssente asobole okutwalibwa e Buyindi okufuna obujjanjabi obusingawo.
Okumudduukirira osobola okusindika ku ssimu eri ku Mobile Money: 0754907843 eri mu mmanya ge aga Mariam Kasana, ku akawunti ya Standard Chartered Acc No: 0100286309700 mu Manya ga Francis Omongole.