Kasalabecca

Ebyana biraze emibiri mu kutongoza kampeyini y'okusimba emiti

EBYAANA biraze emibiri mu kaweefube w’okutongoza kampeyini y’okusimba emiti okutaasa obutonde bwensi ekuliddwa Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi.

Ebyana biraze emibiri mu kutongoza kampeyini y'okusimba emiti
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBYAANA biraze emibiri mu kaweefube w’okutongoza kampeyini y’okusimba emiti okutaasa obutonde bwensi ekuliddwa Dr. Dennis Daniel Ssemugenyi.

Kaweefube bamutandise na bimu mwe bagenda okugabira endokwa z’emiti ezisoba mu kakadde eri abagenda okwetaba mu kivvulu ekituumiddwa 'Simba omuti otaase obutonde bw’ensi'  e Lugogo. Buli agenda mu kivvulu bagenda kumuwa endokwa z’emiti za bwereere.

Dr. Ssemugenyi yalangiridde nti ayagala buli kibangirizi ekiri mu bibuga okutandikira ku Kampala , Masaka Jinja n’ebibuga ebirala babimukirize okubijjuzaamu emiti. “ebibangirizi ebimu njagala babinguze bisimbemu ebibira wakati mu kibuga okutaasa obutonde bw’ensi  nga Gavumenti y’ebirabirira.

Akwasiddwa omulimu gw’okukunga abadigize Abbey Musinguzi yabaddewo n'ategeeza nti ayagala buli mudigize mu sizoni eno asimbe emiti egyenkanankana n’emyaka gye gye yaakamala ku nsi ate buli bw'aba ng’agenda kukuza mazaalibwa buli mwaka asimbe emiti.

Tags:
Dennis Daniel Ssemugenyi

Emboozi Ezifanagana