Kasalabecca

Eyali omusambi wa Uganda Cranes Savio Kabugo ayanjuddwa kabiite we Leila  Nakyanzi n'amuwa kapyata wa Mmotoka

EMYAKA 15 ng’eyaliko omuzibizi wa Cranes Savio Kabugo, eby’okwanjulwa abisala ekikuubo, yamaze nakkiriza kabiite we Leila Nakyanzi n’amulagayo mu butongole eri bakadde be, ku mukolo gaggadde ogwasombodde abawanvu n’abampi. 

Savio Kabugo ng'ali ne mukyala we Nakyanzi mu mmotoka gy'amutonedde
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

EMYAKA 15 ng’eyaliko omuzibizi wa Cranes Savio Kabugo, eby’okwanjulwa abisala ekikuubo, yamaze nakkiriza kabiite we Leila Nakyanzi n’amulagayo mu butongole eri bakadde be, ku mukolo gaggadde ogwasombodde abawanvu n’abampi.

Kaabadde kaseera ka ssanyu naddala eri Nakyanzi, bakira buli lw’afuluma okujja eri abagenyi ng’asaba obuyimba okuli; ‘Katonda y’abadde mw’eno ensonga’ ate nti ‘Nina bingi by’otanalaba’, ‘Owooma’ olwa Geosteady, ‘Muwoomya’ olwa Sheebah ne King Saha, ‘long time’ olwa Reign n’endala zonna nga zirumya.

Savio Kabugo en kabite we Nakyanzi

Savio Kabugo en kabite we Nakyanzi

Kyayitiridde mu bulamu bwa Nakyanzi, omwami we Kabugo bwe yatuuse okuleeta ebirabo eri abazadde ebyajjuzza oluggya. Ate Kabugo bwe yasabuukuludde kapyata w’emmotoka ekika kya Toyota Harrier Hybrid n’agisimba Nakyanzi, amaziga gaakulukuse ffamire yonna nga buli omu yeewuunya omukwano Kabugo.

Omukolo gwabadde mu maka ga Sarah Jamida n’omugenzi Dalausi Katongole abazaala Nakyanzi ku kyalo Kikaaya mu muluka gw’e Kisaasi mu munisipaali y’e Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala.

Savio Kabugo ng'ali en Kabiite we Nakyanzi ku mukolo gw'okwanjula kwabwe

Savio Kabugo ng'ali en Kabiite we Nakyanzi ku mukolo gw'okwanjula kwabwe

“Omukazi namufuna mu 2010, mbadde nkooye okubuuka emyala nga neebalama bazadde be, anti nali nakyala naye ennaku z’okwanjula ne ziyitako, wabula neebaza Katonda nti kiwedde, kati njagala Nakyanzi anzaalire ttiimu y’omupiira omuli n’abalongo, embaga y’eddako,” Kabugo bwe yategeezezza.

Kabugo azannyiddeko kiraabu nnyingi wano mu ggwanga okuli; SC Villa, SC Victoria University, URA FC, Proline, Lugazi ne Ntebbe UPPC. Yaliko ku pulo mu; AS Vita Club (Kinshasa – DR Congo), Sebeta Kanema (Ethiopia) ne Jwaneng Galaxy (Botswana).

Cranes yagyegattako mu 2013 nga Uganda ezannya ogw’omukwano ne Rwanda, yazannya CHAN wa 2014, World Cup qualifiers 2017 n’empaka nnyingi wabula obuvune lwe bwamulemesa