GLORIA Buggie omwaka agumazeeko mu maanyi. Yawangudde engule y’omuyimbi omukyala asinze mu mawanga agali mu bukiikaddyo ne mu buvanjuba bwa Afrika mu mpaka za ‘Zikomo Africa Awards’ ezaabadde e Tanzania.
Omanyi Gloria Buggie ono abamu bamumanyi ng’omwolesi w’omubiri okusinga okuyimba era omukolo guno bwe gwawedde yalabiddwaako n’omuyimbi Rayvanny okuva e Tanzania nga bali bulala.
Obutambi nga Buggie ali mu nnyumba y’omuyimbi ono bw’asaasaanye ku mutimbagano gya yintanenti era abangu b’okusala ‘waadi’ ne batandika.