HAJARAH Namukwaya gwe mumanyi nga Spice Diana, akutudde ddiiru n’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga ekya FUFA.
Spice Diana yayitiddwa ku kijjulo ekyategekeddwa FUFA ku wooteeri ya Imperial e Nakasero ng’ekigendererwa kyakyo, kya kutumbula liigi y’omupiira gw’abakazi.
Kyokka waliwo abawagizi b’omuyimbi Pia Pounds abagamba mbu yakubye omuntu waabwe ekikono, n’amulesa ddiiru eno mbu kuba ebbanga lyonna y’abadde awagira omupiira era ng’alina enkolagana enkwafu ne FUFA