PURITY Mukisa, omuyimbi w’ennyimba za gosipo, omwaka agutandikidde mu ggiya. Afulumizza vidiyo y’oluyimba lwe olupya lw’atuumye ‘Niwewe’ olugguddewo omwaka 2026.
Niwewe kigambo kya lulimi Luswayiri ekitegeeza nti ‘Ye ggwe’. Purity Mukisa, muweereza wa Mukama era akozesa talenti ye ey’okuyimba okusaasaanya enjiri ya Kristu.
Aluwaanye okuba nga lunyuma wabula n’ategeeza nti mulimu obubaka obubudaabuda abali mu bweraliikirivu n’abo abaweddemu essuubi. Lwakoleddwa pulodyusa Sam Bisaso ate Creation Charis n’erukwata vidiyo. Purity Mukisa era ye yayimba Yenze, Ofuge n’endala.