OMUYIMBI Zafaran ayabulidde ekibiina kya Swangz Avenue. Ono amaze mu Swangz emyaka 4 oluvannyuma lw’okugyegattako mu 2022.
Abawagizi abamu baamulabamu essuubi nti, yandiba emmunyeenye ya Uganda eddako mu kisaawe ky’okuyimba oluvannyuma lw’okumuzuulamu talenti ey’enjawulo ate nga yeegasse ku kibiina ekimanyi okutumbula abayimbi.
Wabula okusinziira ku mawulire ge tufunye okuva mu nsonda ez’enjawulo, twategeezeddwa nti, enkolagana ye ne Swangz Avenue yayonoonekamu era yasemba okufulumya ennyimba omwaka kati mulamba oguyise.
Twategedde nti, yatuuse ekiseera ng’alinda kumalako kontulakiti ye gye yali yassaako omukono nabo alyoke addemu okufulumya ennyimba. Mbu kati ali mu ffumbiro, ayiiyiza bawagizi be kipya.