OMUYIMBI Zafaran ayabulidde ekibiina kya Swangz Avenue. Ono amaze mu Swangz emyaka 4 oluvannyuma lw’okugyegattako mu 2022.
Wabula okusinziira ku mawulire ge tufunye okuva mu nsonda ez’enjawulo, twategeezeddwa nti, enkolagana ye ne Swangz Avenue yayonoonekamu era yasemba okufulumya ennyimba omwaka kati mulamba oguyise.
Twategedde nti, yatuuse ekiseera ng’alinda kumalako kontulakiti ye gye yali yassaako omukono nabo alyoke addemu okufulumya ennyimba. Mbu kati ali mu ffumbiro, ayiiyiza bawagizi be kipya.