MUNNAKATEMBA Sam Okanya amanyiddwa nga Sammie ayingide obusumba. Ono yatandise Ekkanisa gye yatuumye Emmaus Ministry International n’ayita abawagizi be okumwegattako okutendereza Katonda.
Yategeezezza nti, yasazeewo okutandika Ekkanisa eno kuba yafunye okuyitibwa kw’okuweereza Katonda n’okwongera obukkiriza mu bantu.
Gye buvuddeko, Sammie ono yayingirako ekisaawe ky’ebyobufuzi era yasibwako. Yaliko ku ndiri nga ne ssente ezimujjanjaba ayagga njagge.
Abamu batandise okumwogerera nti, tebamulabamu kitone kya kubeera Musumba nti, era ssinga yasigadde mu Bwannakatemba n’ayiiyiza eyo ‘akawogo’ yandisinze.