Kasalabecca

Pasita Rwomushana azze na nkuba mpya

WUUNO Paasita Isaac Rwomushana, azze n’enkuba empya ebuulira enjiri esanyusizza abato n’abakulu, ab’omu kibuga n’ab’omu kyalo.

Pasita Rwomushana azze na nkuba mpya
By: Musa Ssemwanga, Journalists @New Vision

WUUNO Paasita Isaac Rwomushana, azze n’enkuba empya ebuulira enjiri esanyusizza abato n’abakulu, ab’omu kibuga n’ab’omu kyalo.

 

Alina Ekkanisa eya God is Good Church esangibwa e Sseguku Katale era eby’okusolooza abagoberezi be nga tebasoose kwefaako, tabiriiko. 

 

Ayimirira ku katuuti n’ategeeza nti; “Mukyala wo bw’aba yakusabye ssente z’okukola enviiri era nga zozze nazo wano okuziwaayo ng’ekirabo mu Kkanisa, tokikola. 

 

Sooka ogende osibise mukyala wo enviiri z’onoffissaawo, z’ojja okuleeta ng’ekiweebwayo...” Ebigambo bino bikutte bangi omubabiro n’abatali Balokole ne baagala banoonye Ekkanisa ye weeri. 

 

Paasita Rwomushana agamba nti nga tonnazimba Kkanisa, sooka omalirize ebizibu byo nti kuba Yesu tasobola kufa ku Musaalaba nga tasobola kwezimbira nnyumba ye alyoke akubonyeebonye obulwe n’eky’okulya olw’okuba owaddeyo mu Kkanisa. 

 

Paasita ono ayagaddwa abantu abamu ne batandika okugamba nti wa ‘New Curriculum’ ekitegeeza nti mulembe mupya nti talinga bannaddiini abamu, abakunga abantu okuwaayo kyonna kye balina. Ono kati ku buli mukutu gwa yintanenti y’aliko.

Tags:
Isaac Rwomushana

Emboozi Ezifanagana