OMUYIMBI Chagga yacaaka nnyo ng’akyayimba ne Jose Chameleone mu kibiina kya Leone Island mu myaka gy’e 2000.
Bwe yavaayo, yatandika okukola ebibye n’akolako n’abayimbi abawera okuli n’omugenzi Mowzey Radio ne Weasel.
Gye buvuddeko yabadde ategese ekivvulu okweyozaako ennaku wabula n’akisazaamu ku ssaawa esembayo nga yeekengedde abantu obutajja.
Abamu bagamba nti wano we yasinzidde okusalawo agende e Bulaaya agezaako obulamu obupya obw’ekyeyo. Yeegasse ku bayimbi ba Uganda abalala abagenze ku kyeyo.