Makoma Band, eyingiddewo okukusanyusa ku Lwokutaano luno nga March 6. Bano, New Vision ng’eri ne Pacific Events be bategese ekivvulu kino nga New Vision ejaguza emyaka 40 mu buweereza.
Omusumba Wilson Bugembe yasinzidde mu kusinza ku kkanisa ye eya The Worship House e Nansana n’ayozaayoza New Vision olw’okuweza emyaka 40 ng’ewandiika n’okufulumya amawulire agakyusizza obulamu bw’abantu mu Uganda n’okwetooloola ensi yonna era n’akunga abantu bonna, okubaayo mu kivvulu kino.
Mu kivvulu kino, baakuwerekerwako abayimbi abalala Bannayuganda okuli; Pasita Bugembe, Rachael K, Best Emilly, Brian Lubega n’abalala era Owen Bugembe owa Pacific Events, akunze abatannafuna tikiti, okuzigula kati.