STUART Kavuma amanyiddwa nga DJ Slick Stuart akutudde ddiiru ya bukadde.
Ono, aba Double Barrel ababunyisa eky’okunywa kya Belaire bamulonze okubeera ambasada waabwe era abamuli ku lusegere bagamba nti kati atambula ‘avimba’ nga bw’akunga abantu ku Deacon Whisky.
Abaalonze DJ Slick Stuart nga bakulembeddwa Joan Lubega bagamba nti teri DJ amuwunyamu mu kutabula omuziki kyokka nga n’enneeyisa ye nnungi