VERE Paul omuyimbi w’ennyimba za gosipo ajaguzza amazaalibwa ga mukyala we mu sitayiro.

Paul Bw'afaanana
Agamba nti laavu kitegeeza kuyiiyiza munno ebimusanyusa era ku mazaalibwa ga mukyala we Dutchess ag’omwaka guno, yasoose kumutegekera kyankya kye yamusanzizza mu buliri era obutambi bwabwe nga bajaguza laavu, bwasaasaanye ku mikutu gy’oku mitimbagano. Vere Paul ayimba ku bivvulu by’Abalokole n’emikolo.