Kasalabecca

Bryan White asabye abanoonyereza ku misango egimuvunaanwa banguye asobole okufuna obwenkanya

BRIAN Kirumira amanyiddwa nga Bryan White asabye abanoonyereza ku misango egimuvunaanwa banguye asobole okufuna obwenkanya nti kuba mu kkomera gy’ali, talina bujjanjabi bumala. 

Bryan White asabye abanoonyereza ku misango egimuvunaanwa banguye asobole okufuna obwenkanya
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

BRIAN Kirumira amanyiddwa nga Bryan White asabye abanoonyereza ku misango egimuvunaanwa banguye asobole okufuna obwenkanya nti kuba mu kkomera gy’ali, talina bujjanjabi bumala. 

Yabadde mu maaso g’omulamuzi Sarah Anne Basemera owa kkooti y’e Makindye eggulo, ku misango egimuvunaanibwa ku kufa kw’omuwala Caroline Nalubwama eyali abeera ewuwe.

 Bryan White eyajjidde mu kagaali, yategeezeddwa nti tewali kkooti ky’esobola kukola ku musango gwe kuba omuwaabi wa gavumenti teyabaddewo.

 Bryan avuunaanibwa n’abakyala abalala 4 ku misango gy’okutta n’okusaddaaka, okusangibwa n’ebiragalalagala, okuwa amawulire ag’obulimba ku nfa ya Nalubwama n’emirala. Omusango gwakuddamu okuwulira nga April 16.

Tags:
Brian White