RITAH Kaggwa, awangaalira mu Bungereza bamuyiyeemu enzirusi n’agaziwa.
Ono, muwi wa bubaka ku mutimbagano era yeewaanye nti muninkini we ye yamuwadde kapyata wa mmotoka ekika kya Range Rover ng’ajaguza amazaalibwa ge.
Kuno yamugattiddeko omutwalo gwa pawundi ya Bungereza ng’amwebaza olw’okubeera omukyala omulungi n’okulabirira obulungi abaana.
Abaabadde okumpi ne Ritah Kaggwa ku kabaga k’amazaalibwa ge, bagamba nti ono yayozezza ku mmunye olw’essanyu n’asekerera abamulumba nti y’essaawa basirikeko okutuusa nga nabo bafunyeeyo mmotoka eyeefaananyiriza gye baamutonedde.