Kasalabecca

Bad black azzeemu okweyubula!

BAD Black, tava ku nnoobu era akyusizza endabika nga kati osobola okumuyita ow’emyaka 20 wadde ng’ali mu 30. Amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa, yasabuukuludde endabika ye empya.

Bad black azzeemu okweyubula!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

BAD Black, tava ku nnoobu era akyusizza endabika nga kati osobola okumuyita ow’emyaka 20 wadde ng’ali mu 30. Amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa, yasabuukuludde endabika ye empya.

Bad black bw'afaanana kati

Bad black bw'afaanana kati

Emyezi egiyise, yategeeza nga bw’atandise ku kya Tummy Tuck and Liposuction Cosmetic Procedures, ayongere okulabika obulungi. Ebifaananyi bye yatadde ku mikutu gy’oku mitimbagano, nakawere Bad Black, bw’omusanga mu kkubo, omuyitako.

 

 

Yakoze hipusi, akabina kakirako akaseppiki akatuuziddwa ku mubiri gwe, akabuto kali eri munda ke bayita ak’ennumba ate ebbeere agamba nti ly’alina liringa mutima gwa mbogo.

 

Ono bwe yali ku yintaaviyu emu, yagamba nti ssente ze
yeetaddemu nnyingi nnyo, era omuntu yenna anaavaayo n’amwogerako mu ngeri y’okumunenya ku kye yakoze waakuvaawo bubi naye.

 

 “Eno nakoze BBL era kitegeeza nti nneetaddemu omusimbi mungi. Omukazi nga tolina ‘flat tummy’ togeza kweyingiza mu nsonga zino, linda nsonga za bamaama,” Bad Black bw’agamba era yawadde abakyala abazadde amagezi, okwefaako.

 

Oli bw’awulira bino, alowooza gwe gusoose Bad Black okwekyusa mu ndabika wabula yakitandika dda era yategeezaako nti tayagala kulabika nga Muddugavu.

 

Bwe yali ali mu kkomera mu 2012 ku misango gy’okubulankanya ssente z’Omuzungu, Bad Black yalaajanira omulamuzi amuwonye ekkomera nti amabeere ge yali akozeeko sajale, gamuluma nnyo.

Tags:
Bad black