BAD Black, tava ku nnoobu era akyusizza endabika nga kati osobola okumuyita ow’emyaka 20 wadde ng’ali mu 30. Amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimbwa, yasabuukuludde endabika ye empya.

Bad black bw'afaanana kati
Ono bwe yali ku yintaaviyu emu, yagamba nti ssente ze
yeetaddemu nnyingi nnyo, era omuntu yenna anaavaayo n’amwogerako mu ngeri y’okumunenya ku kye yakoze waakuvaawo bubi naye.
“Eno nakoze BBL era kitegeeza nti nneetaddemu omusimbi mungi. Omukazi nga tolina ‘flat tummy’ togeza kweyingiza mu nsonga zino, linda nsonga za bamaama,” Bad Black bw’agamba era yawadde abakyala abazadde amagezi, okwefaako.
Oli bw’awulira bino, alowooza gwe gusoose Bad Black okwekyusa mu ndabika wabula yakitandika dda era yategeezaako nti tayagala kulabika nga Muddugavu.
Bwe yali ali mu kkomera mu 2012 ku misango gy’okubulankanya ssente z’Omuzungu, Bad Black yalaajanira omulamuzi amuwonye ekkomera nti amabeere ge yali akozeeko sajale, gamuluma nnyo.