VERONICA Luggya amanyiddwa nga Vinka waliwo omuyimbi amulumirizza ‘okumubbira’ oluyimba.
Wiiki eno, Vinka yatadde oluyimba lwe yatuumye ‘Mine’ era abawagizi be, baamusanyukiddeko kyokka byandimukyukira.
Anti Gael Will, omu ku bayimbi abazze n’amaanyi mu ndongo, amulumiriza nti yayozezza mu luyimba lwe olwa ‘Stay’ lwe yafulumya omwaka oguwedde.
Wadde Vinka tannavaayo kwogera ku nsonga eno, abasinga omusango baagusalidde bapulodyusa abakola ennyimba zino mbu be bavaako ekizibu kino mu bayimbi.