OMUYIMBI Rema Namakula asabye abamubanja embaga ne bba Hamza Ssebunya boogere birala kubanga mbu bbo baagimaliriza dda.
Rema agamba awulira nnyo abantu nga bakozesa emitimbagano gyabwe olumu n’abo b’asanga gy’atambulira nga bamubuuza emikolo gy’embaga ne bimwewuunyisa.
Agamba embaga ye ne Ssebunya yaggwa dda era nga bakola ya Busiraamu eyali teyeetagisa bantu bangi nnyo era nti n’amahare yagafuna dda.
Ayongerako nti bwaliba waakukola bya kwambala kadaali kijja kubaawo nga yeeyagalidde
ssi bintu bya kumuteeka ku bunkenke.