Kasalabecca

Balimwezo atandise okwebaza

LOODI mmeeya wa Kampala omulonde, Ying. Ssaalongo Ronald Balimwezo Nsubuga ne mukyala we Nnaalongo Rachael Balimwezo batambula mu masinzizo n’ebifo eby’enjawulo nga beebaza abawagizi baabwe olw’okubalonda. Ku Ssande, Balimwezo yabadde mu kusaba k’okwebaza Katonda mu kkanisa ya Bathel Healing Centre ku Pride Theatre ey’Omusumba Irene Manjeri.

Omusumba Manjeri ng’akwasa Balimwezo n’omukyala embuzi okubakulisa akalulu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LOODI mmeeya wa Kampala omulonde, Ying. Ssaalongo Ronald Balimwezo Nsubuga ne mukyala we Nnaalongo Rachael Balimwezo batambula mu masinzizo n’ebifo eby’enjawulo nga beebaza abawagizi baabwe olw’okubalonda. Ku Ssande, Balimwezo yabadde mu kusaba k’okwebaza Katonda mu kkanisa ya Bathel Healing Centre ku Pride Theatre ey’Omusumba Irene Manjeri.
Balimwezo yatenderezza Pasita Manjeri olw’omulimu gw’akola ogw’okulyowa emyoyo n’okubudaabuda
Bannayuganda. Yagambye nti okutuuka ku buwanguzi tegaali maanyi ge wabula ekisa kya Katonda n’obuwagizi bwa Bannakampala. Omusumba Manjeri yasiimye ba Balimwezo olw’okumanya Katonda n’okudda okwebaza. Manjeri yatonedde Balimwezo embuzi n’amusaba okulwanirira ennyo Abalokole bonna mu Kampala.