EKIBUGA Kampala kikyuka buli lukya nga n’ehhombo ya Kampala anyuma kiro egenda etuukirira kati, anti osanga ebizimbe ebipya ebitemagana. Kkamera za Bukedde zeetoolodde ekibuga Kampala ne zikwata ebizimbe ebikyusizza endabika ya Kampala. Bannannyini byo kati bakanya kuteeka bintu byanjawulo ku bizimbe byabwe basobole
okusikiriza abapangisa n’abagula ebintu okubyettanira. Okumakya Kampala akyuse, ne mu Kisenyi abayaaye gye babadde beebaka, abagagga nayo balumbyeyo ne bateekayo ebizimbe kw’okomya amaaso olwo ne babiteekako amataala agaaka ennyo ne gongera okunyiriza ekitundu n’okwakaayakana. MOSES NSUBUGA akutuusizzaako ebimu ku bizimbe bino:

Ekizimbe kya Nabukeera ekisangibwa ku Wilson Road ne kikwata ku Burton Street ne Kampala Road.

Chint Centre ku Jinja Road.

kizimbe kya Center Point ekisangibwa ku Burton Street mu Kampala obusukka kkubo bw’ekizimbe kya Mutaasa Kafeero.