OMUYIMBI wa gosipo, Jean Peace Nakiyingi Mulugayo, ategekedde abawagizi be ekijjulo era kati ali mu kugogola maloboozi, abawe ekisinga. Abasuubizza nti waakubayimbira ennyimba ze empya n’enkadde nga June 19 ku wooteeri ya Africana nga waakubeera n’abayimbi ba gosipo abalala okuli; Wilson Bugembe, Justine Nabossa, Twina Herbert, Jonathan Bagara n’aba Levites of the State Band. Ayongerako nti, ekijjulo kino kigendereddwaamu kusonda ssente z’abayizi bamulekwa n’abo abatalina ayamba ab’essomero lya Da Hope Nuresry and Primary mu Buyende. Jean Peace y’omu ku ‘babaakinga’ mu zimu ku nnyimba za Bugembe nga olwa ‘Kani’.